Psalms 136:10-15

10 aOyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 bN’aggya Isirayiri mu Misiri,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 cYabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

13 dOyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 eN’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 fNaye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE